[LYRICS] Vincent Ssegawa – Sappule

“Sappule Lyrics BY Vincent Ssegawa”

Nsiko teyomba wamma obuntubulamu
Munno kwe ntambulira
Nze ne bw’onkola ki nsigala nsirise
Ye Katonda wange n’ampanguza
Nkoleki atalina maanyi gaboggola nti bayuguume?
Okuggyako Katonda oli atalifa gwe ndeka
Entalo zange n’anwanira
Teri alimweyuna ataliwangula muyite nti nnyamba
Olwo abalabe batandike okuyita omulogo
Nga bye baakola bibaddira
Omanyi Katonda munene
Abeeyita abanene y’abakozza
Seereega n’abo ndekera Omukama asasulira mu budde
Onaasoboleza wa abalogo ba kuno abatatya na kutta?

Muggyemu sappule bakaairi mmwe
Temuvumaganya mutyo ddiini
Abamu bambala kutulaga bwe batya Mukama
Ku lwabwe bakole ebikyamu
Sharia n’amakanzu mubyambulemu
Abaswaza obuswaza eddiini
Njagala twawule abatubuzaabuza
Mbu batya Mukama kumbe wa
Sappule muzambulemu
Muli bakairi mulimba ensi eno
Bakeera mu masinzizo balogo
Bayibuli tebazita gy’oli bantu
Mu kusaba tomusookayo batuula maaso
N’okusembera ba kaggwensonyi
Tukolera mitima ogenda mu ggulu
Laga ekyo ky’oli munda

Mu kutya Mukama n’abazadde
Bagamba amagezi mwe gasookera
Ne bwe ziba mpisa atalina ddiini
Tekiribaayo kusanga wa ggonjebwa
B’olaba ab’etina n’amaka mwe baava geego era
Eba ddiini yeesigamu empisa mu muntu
Butonde bwe bujja n’ekisa
Kati awo atalina ddiini
Ogattako ettima nga nalyo zzaale
N’enkoko etakula ssanja neemunyiiza
Ndaba abaziwa obutwa
Amalogo mugalinamu enjawulo
Bantu be mubonyabonya
Yadde gw’ologa yakusobya naye musonyiwe
Omuntu assa ku assa aba n’ekisa

ALSO READ:  [LYRICS] Mabantu - Amina

Sso batulanga bwereere awataliiwo
kye beekwasa Mwana wa munno n’omufuula ekyo
Simanyi oba Katonda alibaddiza
Ensi ne kye tuliko ntenda simanyi oba kuva dda naye
Nga guno ogwae gwe tuliko
Ssi mulembe mulungi abantu tebalina kisa
Tebalina ddiini mitima
Sso teboosa kusaala buli lukya
Esswala ttaano azimanyi
Okuva ku Subuyi ppaka ku Yisaayi
Naye ekko eribali ku mitima
Naye kasita Katonda abalaba
Obutemu, obuggya n’ettima
Bisibuka mw’abo abatata sappule
Muggyemu sappule bakaairi mmwe
Temuvumaganya mutyo ddiini
Abamu bambala kutulaga bwe batya Mukama
Ku lwabwe bakole ebikyamu
Sharia n’amakanzu mubyambulemu
Abaswaza obuswaza eddiini
Njagala twawule abatubuzaabuza
Mbu batya Mukama kumbe wa
Abakulembeze mu buli ddiini bafuba nnyo
Naye be basomesa bakyamu

ALSO READ:  [LYRICS] Mapara A Jazz – John Vuli Gate

Bakole ki ebitabo babisomera
Naye be basomesa ssi bangu
Mazima babireka awo
Bwe bafuluma bangi bye bakola bya bukairi
Ddala mubalaba kusaala nga bavunnama
Ffe tumanyi emyoyo gyabwe
Era mubalaba kubeyuka buli lwa ssande
Bafuba kutulaga mbu tubawaane
Tebabiriiko tebakulimba
Babaayo kiguumaaza mu church
Simanyi oba Katonda mw’abo
Mulibaamu baaliyita ku mmeeza
Bwe biba bivve nga byalisiima
Kankole ebirungi nze guli nsinga
Oba bivve nga byalisiima
Kankole ebirungi nze guli nsinga
Ngya kujulirwa abakulu bennyini
Abakulembeze b’eddiini mbayite

Omulimu ogwabwe bagukoze
Babasomesa ne mutateeka mu nkola
Katonda bw’atalina nkwe
Amazima mu mazima tegazibirwa kkubo
Kati wamma onenyeza wa Faaza?
Bafuba n’abasumba baalemwa dda
Ogamba church bw’ejjuza ne bakubako
Nti baba balongoofu ku kitundu?
Bagendayo abamu kubuzaabuza
Akweke ki kyali munda
Ate Faaza gwatabikkule
Naye hostia agimutoolera
Laba laba bwe batalina nsonyi
Ku mbaga ya Katonda mbu basembera!
Kolera Katonda wo leka okulimba ensi
Hostia nayo ogibbye

ALSO READ:  [LYRICS] Key Glock – Spazzin Out

Kisaana okuseera omutwe
Sooka kunyiga ku gugwo ggwe wennyini
Naawe weekebere nga tonagamba mulala
Osooke weeyoze enziro
Ba Sheikh n’Abawalimu bafuba nnyo
Naye abatateeka mu nkola
Temufuuka kiiso kya mbuzi
Buli muntu asana yedde ku mpisa
Kati obadde ofunye wuzu kusaala
Naye ogisse nga tonnaba kusaala
Nange situukiridde naye ate
Manya we nkoledde ekikyamu
Onyumye onanidde mu Sharia

Kati kola ebyo ebiweesa ekitiibwa
N’owentalabusi kola ekyo bambala
Abamu ne bakola ebikyamu
Mu nzikiriza ze tulina wano
Mulimu abakairi bennyini!
Abenoonyezaamu ebyabwe ku bwabwe
Njogera mazima gennyini
Eeh sivvodde ddiini yonna
Njagala tutereeze mikwano
Era nga tonnaba kunyiiga
Goberera ngoba bayaaye mu ddiin

SUBMIT OR CORRECT LYRICS